Isaiah 44:17-20

17 aEkitundu ekisigaddewo akikolamu katonda,
ekifaananyi ekikole n’emikono,
era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti,
“Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
18 bTebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera,
amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba,
n’okutegeera ne batayinza kutegeera.
19 cTewali n’omu ayimirira n’alowooza,
tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti,
“Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro,
era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo,
njokezzaako n’ennyama n’engirya.
Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo?
Nvuunamire ekisiki ky’omuti?”
20 dAlya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba,
tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti,
“Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”
Copyright information for LugEEEE